St. Josemaria Prayercard - Luganda

St. Josemaria Prayercard - Luganda

Ayi Katonda, ng'oyita mu Bikira Maria, wawa
omusaseredooti wo Josemaría omutuukirivu,enneema
ezitagambika era olw'obwesige bwe wamuyinamu wamuwa
okutandikawo Opus Dei, engeri eyamba omukristu
okutuuka ku butuukirivu ng'ayita mukukola emirimu gye
egya bulijjo n'okutuukiriza byonna omukristu byatekeddwa
okutuukiriza. Mpa nange nsobole okuyiga engeri
y'okufuulamu embeera zange zonna na byonna bye nsanga
mu bulamu bwange omukisa ogw'okukwagala,
n'okuweereza Eklezia, paapa n'emyoyo gyonna mu ssanyu
n'obwetowaze ndyoke mmulise amakubo g'ensi eno
n'okukiriza wamu n'okwagala. Olw'obuwolereza bwa
Josemaría omutuukirivu, mpa kye nsaba .(wano yogera
kyosaba) Amiina.
Kitaffe, Mirembe Maria, Ekitiibwa.

Download St. Josemaría Prayercard - Luganda